Amawulire

Minisitule essubizza okwongeramu amaanyi okulwanyisa omusujja gwensiri

Minisitule essubizza okwongeramu amaanyi okulwanyisa omusujja gwensiri

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Gavumenti okuyita mu ntekateeka eyemikago n’okukwatagana nabantu ssekinoomu oba ebitongole byobwanakyewa, essubizza nti bagenda kwongera amaanyi mu ntekateeka zokulwanyisa omusujja gwensiri.

Okusinziira ku minisita webyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng, gavumenti egenda kwongera okusaka obuyambi okuwagira emirimu gyabwe ku lutalo lwomusujja.

Agambye nti obwetaavu bukyaliwo bwamaanyi, ngmwaka oguwedde bafuna abalwadde b’omusujja gwensiri obukadde 13 mu emitwalo 40.

Okwogera bino abadde asimbula abavuzi be’gaali ababadde mu 50 okubadde nabaana abato ebe’myaka 8 mu kawefube owokulwanyisa omusujja gwensiri.

Ssentebbe owa kawefube gwebatuuma, Malaria Free Uganda, Kenneth Mugisha agambye nti kyekiseera buli muntu okuzukuka, okulwanyisa omusujja kubanga kusobola okuziyizka.

Mu Uganda, olunnaku luugidde ku mubala “Domestic financing for Malaria – The time is now” oba okusimba essira ku buyambi obwomunda mu gwanga okulwanyisa o,musujja, nti ekiseera kyekino.

Obujanjabi bwomusujja gwensiri mu kubla okwangu buwementa emitwalo 3 nekitundu ku buli mulwadde.

Kisubirwa nti omwaka gwa 2017 wegwatukira abantu omtwalo 1 mu 3,203 bebafa omusujja gwensiri wabulanga 3,302 bebamanyikako.

Uganda olwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunnaku lw’omusujja gwensiri oba Malaria Day.

Mu bubaka obujidde ku lunnaku luno, ekitongole kyebyobulamu munsi yonna, World Health Organization balaze okutya ku musujja ogweyongedde wabula nga teguwulira ddagala, era kino bagamba nti kigenda kwongera okuzibuwaza olutalo ku musujja gwensiri.

Ekirubirirwa ekyalambikibwa okuziyiza omusujja gwensiri 90% omwaka 2030 wegunatukira, bagamba nti kyandirema okutukibwako.

Mungeri yeemu ekitongole kyebyobulamu, World Health Organization (WHO) baliko amawanga 25 gebalondobyemu nga kuliko namwanga ga Africa 3, gebagenda okutwalamu kawefube wokulwanyisa omusujja gwensiri owa 2025 gwebatuumye ‘E-2025 Initiative’

Mu kawefube ono essira balitadde ku musujja gwensiri, atenga ne nabe wa ssenyiga omukambwe tebamusudde muguluka.

Aamawanga g Africa kuliko, egwanga lya Botswana, Eswatini ne South Africa nga basinzidde kungeri ekirwadde kya COVID-19 ate gyekyagotanyamu emirimu gyokulwanyisa omusujja gwensiri.