Amawulire

Minisita waakweyanjula eri palamenti

Minisita waakweyanjula eri palamenti

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2020

No comments

Bya Prosy Kisakye

Minisita owebyenjigiriza nemizannyo Janet Museveni ategezezza nga bwyetegese okweyanjula eri palamenti okwenyonyolako, kubye nnambika yebisomesebwa emppya eya lower secondary curriculum.

Ku bbalaza olukiiko lwaba minister lwazeemu nerukakasa curriculum eno, waddenga palamenti yali eyisizza ekiragiro, ekijiyimiriza.

Mu kino omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga yagamabye nti kwabadde kubayisaamu lugaayu, era nayaita minister yenyonyoleko.

Kati bwabadde mu kusunsulamu abayizi abagenda okuyingira ssiniya eyokutaano mu kibangiriza kyabanamakolero e Lugogo Janet Museveni akakakasizza nti waakulabikako eri palamenti.