Amawulire

Minisita atangaaziza ku by’okudda ku Masomero

Minisita atangaaziza ku by’okudda ku Masomero

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minisitule evunanyizibwa ku byenjigiriza ne bye mizannyo etegeezeza nti abayizi aba P4, P5 naaba S1 ne S2 bakutandika okusoma ngennaku zómwezi 6th.

Kino kitegeeza nti abayizi ba P7 ne s4 bajja kuba nga bamaze ebigezo byabwe ebyakamalirizo.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu kampala minisita we byenjigiriza Janet Museveni, agambye nti yadde nga abayizi abalindiridde okuyingira ebibiina ebya kamalirizo bakutandika okusoma nga March 1st 2021, bakuwumula nga May 12th.

Ono era akatiliza nti abaana ba nasale na ba daycare bakusigala ewaka okumala ebbanga okutuusa nge kirwadde kya covid kiwedewo kuba bano tebasobola kwambala bukokolo

Janet Museveni eras agambye nti omwaka gwe yensoma ogwa 2020 gwakukomekerezebwa mu July 2021 ate omupya ogwa 2021 gutandike.

Era atanyiza nti abayizi bokka abali mu mwaka gwabwe ogusembayo bebagenda okubuzibwa ebibuuzo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *