Amawulire

Minisita ali mu kattu

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

minister Kibuule

Spiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagidde minisita omubeezi akola ku nsonga z’abavubuka okunyonyola ku bigambo byeyayogeddde ku bakyala bambala enkunamyo.

Okulagira kwa spiika kuddiridde ababaka Florence  Namayanja, Gerald Karuhanga, ne Winnie Kizza okusaba minister ono yetonde oba si kkyo alekulire

Kibuule yagambye nti abakyala abambala enkunamyo betaaga kukaka mukwano bagweemu akajanja

Bweyabuuziddwa kiki ky’ayita enkunamyo, yayogedde ku jiini ezikwata omubiri, obugoye obumpi n’obugoye obuwugirwaamu

Ono nno alumbiddwa abantu abatali bamu kati nga bbo babaka banne bagaala yetondedde olw’ebigambo byeyayogedde.

Ababaka okuli Gerald Karuhanga, ne Florence Namayanja bagamba nti ebigambo bya kibuule biswaaza gavumenti ng’alina okwetonda n’okukakasa nti yali abitegeeza

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *