Amawulire

Minisita alagidde siteegi y’e Entebbe egende mu paaka ya Usafi mu bwangu

Minisita alagidde siteegi y’e Entebbe egende mu paaka ya Usafi mu bwangu

Ivan Ssenabulya

October 28th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Minisita wa Kampala nemirirano , Betty Kamya asabye abagoba ba taxi ku siteegi y’e Entebbe mu paaka enkadde okusenguka bagenda mu paaka ya Usafi nga tebawalirizidwa

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala Kamya agambye nti ekitongole kya KCCA kirina enteekateeka ez’okukulakulanya paaka enkadde eranga taxi zonna zirina okuvaamu okusobozesa omulimo guno okugenda mu maaso.

Kamya era asabye poliisi okuyambako ekitongole kya Kcca mu kusengula siteegi ye Entebbe okugenda mu paaka ya Usafi okuvanyuma lwokubasengula ku lwokutaano lwa ssabiiti eyise ne balemeramu.

Wabula minisita agamba nti paaka enkadde ne bweneeba ewedde siteegi ya Entebbe ziyakudda mu paaka enkadde.

Ono mungeriyemu asabye badereva ba taxi abakolera ku shoprite ne ku shell okwamuka ebifo bino mu mirembe bagenda mu kifo gye balagibwa okugenda.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *