Amawulire

Mike Azira anyuse omupiira ku tiimu y’egwanga

Mike Azira anyuse omupiira ku tiimu y’egwanga

Ivan Ssenabulya

April 15th, 2021

No comments

Bya Lukeman Mutesasira

Omuwuwutanyi wa Cranes Mike Azira naye anyuse omupiira ku tiimu y’egwanga.

Azira awandikidde pulezidenti wa FUFA, Eng Moses Magogo ngamutegeeza ku kusalowo kwe.

Asiimye aba FUFA, ekibiina eiddukanya omuzannyo gwomupiira mu gwanga olwomukisa nobuwagizi bwebazze bamuwa.

Ono Kati afuuse omusambi owokusatu, mu bbanga lya sabiiti emu okunyuka omupiira gwa Cranes, abalala kuliko Hassan Wasswa ne kapiteeni Dennis Onyango.

Mike Azira omupiira yagutandikira mu Villa ento, Jjogo mu 2008 ymweyava okugenda mu gwanga lya America gyamaze ebbanga lyonna.

Mike Azira azanyidde Uganda Cranes emipiira 10 nga yoomu ku basambi abayisaawo tiimu ye gwanga, okukiika mu mpaka za AFCON mu 2017 e Gabon ne 2019 ezaali e Misiri.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *