Amawulire

Mbabazi yegaanye okulya ensimbi z’engulu

Ali Mivule

November 25th, 2015

No comments

Eyali ssabaminisita w’eggwanga era eyesimbyewo wansi w’ekisinde kya Go-Forward  Amama Mbabazi yeganye eby’okwemolera ku nsimbi ezaali ez’okubudabuda abakosebwa olutalo mu bukiika kkono bw’eggwanga.

 

Mbabazi agambye tekwatanga ku nsimbi zino kubanga etteeka teriwa minisita yenna nga ne ssabaminisita mwomutwalidde buyinza kukwasaganya nsimbi zino.

 

Nga ayogerako nebannamawulire e Gulu, Mbabazi ategezezza nti yadde nga ensimbi zino zabulankanyizibwa mu ofiisi ye, teyetaba mu kubulankanya ensimbi zino.

 

Mbabazi era anenyezza nyo omubaka wa  Aruu county Odonga Otto olwokuwabya abantu mu bukiika kkono bw’eggwanga ku ani eyalya ensimbi zino.

 

Otto ono yakulemberamu abatuuze nebekelakaasa nga alumiriza Mbabazi okukulemberamu okubba ssente zino.

Bbo ab’ekisinde kya  Go- forward  nga bebanonyeza Amama Mbabazi akalulu batongozza kawefube w’okuva nju ku nju mu ggwanga lyonna nga basaggula akalulu.

 

Kawefube ono bamutuumye akakadde kamu okuletawo enkyukakyuka nga era abavubuka bakusonda n’ensimbi okuyamba ku Muntu waabwe okukuba kampeyini.

 

Ssabakunzi mu kawefube ono  Edith Ssempala agamba bakukolera mu mpalo nga era bakutambulira mu mmotoka okuva mu kifo kimu okudda mu kirala.