Amawulire

Mbabazi ne Besigye bazzeemu okusisinkana

Mbabazi ne Besigye bazzeemu okusisinkana

Ali Mivule

October 26th, 2015

No comments

File Photo: Besigye ngali ne Mbabazi

File Photo: Besigye ngali ne Mbabazi

Ab’omukago gwa The Democratica Alliance bakyagenda mu maaso n’enteseganya z’okusimbawo omuntu omu ku bwapulezidenti .

Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti  Dr. Kiiza Besigye n’eyesimbyewo nga atalina kibiina Amama Mbabazi bazzemu okuteesa ku wikendi.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa omukago guno, enteseganya zino zakwatiddwa nga zikubirizibwa ab’ekibiina kya Kofi Annan Foundation mu kibuga  London mu ggwanga wa Bungereza.

Abakulembeze b’omukago guno bagamba nti enteekateeka z’akalulu ka 2016 zonna ziwedde.

Kawefube w’omukago okusimbawo omuntu omu zagwa butaka oluvanyuma lw’abakulembeze bonna obutakkanya.