Amawulire

Mbabazi atabukidde Museveni- Njakubyogera

Ali Mivule

November 24th, 2015

No comments

 

Ow’ekisinde kya Go-Forward Amama Mbabazi  addiza pulezidenti Museveni omuliro n’amusaba aleme kwekwasa balala ku bimulemye akkirize ensobi ze.

Mbabazi abadde ayanukula pulezidenti Museveni eyategezezza nga Mbabazi bw’alina okuneneyezebwa ku byonna ebitagenda bulungi mu gavumenti ye kubanga ya musaale nyo mu kusalawo ku nsonga ez’enjawulo.

Mbabazi agamba azze eyogera ku bitali bituufu nga kale era wakugenda mu maaso n’enteekateeka eno.

Wabula Mbabazi alabudde eyali mukamawe nti singa tamweneneya wakwongera okwaasa ebyama.

 

Mungeri yeemu Mbabazi  ayagala wabeerewo okunonyereza ku Lt Gen Henry Tumukunde gw’alumiriza okutataganya enkungaana ze.

Mbabazi agamba buli gyebagenda okukuba olukungaana basangayo Tumukunde kale nga asaanye okunonyerezebwako.

Munna Go Forward ono yewunya ne ssente Tumukunde z’asasanya gyazijja kale nga ebyo byonna bisaanye okutunulwamu.

Wabula alaze essanyu nti yadde nga bannayuganda batiisibwatisibwa, bajumbidde enkungaana ze

Bino Mbabazi abyogedde ayogerako nebannamawulire mu Arua nga yetegekera olugendo lwe olw’e Gulu gy’asubirwa okukuba enkungaana.