Amawulire

Mayiga akalaatidde abakulembeze

Mayiga akalaatidde abakulembeze

Ivan Ssenabulya

March 11th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Obwakabaka bwa Buganda busabye abakulembeze bonna abalondedwa ku bifo ebyenjawulo mu kulonda kwa bonna okwakakomekerezebwa, obutava ku miramwa egyabalondesa, kuba abantu ababalonze era betegefu okubasuula mu kulonda okunaddako.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yasibiridde abanakulembeze entanda eno bwabadde asisinkanyemu abakulembeze b’egombolola ye Lubaga abakalondebwa abakulembedwamu meeya omugya Zaki Mawula Mberaze wano ku mbuga enkulu e Bulange e Mengo.

Katikkiro era asabye abakulembeze abagya ab’egombolola ye Lubaga okukuuma n’okutumbula ebifo ebyenkizo eby’obwakabaka ebiri mu gombolola eno n’okutangira abantu abutasalimbira ku ttaka ly’ebifo bino

Owek David Kiwalabye Male yebaziza meeya agenda okuwumula Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebugwawo olw’omulimu omunene gwakoze mu gombolola eno naddala obuwereza bwe eri obwakabaka nasaba agenda okumudira mu bigere Zaki Mawula Mberaze, okumulabirako.

Meeya Zaki Mawula Mberaze yeyamye okunyweza enkolagana n’obwakabaka nga basosowoza emirimu egizimba obwakabaka era neyebeza Owek Nabbosa Ssebugwawo olw’obuwereza obulungi era bakumuyigirako.