Amawulire

Mayambala wakwetaba ku mukolo gw’okulayira

Mayambala wakwetaba ku mukolo gw’okulayira

Ivan Ssenabulya

May 6th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abaavuganya ku bukulembeze bwe’gwanga, baliko byebogedde ku mikolo gyokulayira kwomukulembeze we’gwanga ejibindabinda.

Omukolo guno gwakuberawo wiiki ejja, wabula minisita wensonga zobwa pulezidenti Esther Mbayo yategezezza nga bonn abavuganya ne pulezidenti Museveni bwebayitiddwa okugwetabako.

Ku mukolo guno era abagenyi 4000 okuli nabakulembeze bamawanga abasoba mu 40, bbasubirwa.

Kati John Katumba Katumba, eyali asembayo obuto mu lwokaano agambye nti tanasalawo obanga anetaba ku mukolo.

Yye Joseph Kabuleta nga naye talina kibiin mweyajira okuvuganya, agambye nti tanafuna ku bbaluwa yponna emuyita wabula nebwebanamuyita, tasobola kugendayo.

Mungeri yeemu, Eng Willy Mayambala yye akaksizza nti bwanayitibwa, ajja kwetaba ku mukolo.

Mayambala agambye nti assa ekitiibwa mu mukulembeze we’gwanga, Yoweri K Museveni nti yeyawangula okulonda kwa bonna okwaliwo nga 14 January.

Agambye nti era bwekinaaba kiosboka wakukola naye, okutwala egwanga mu maaso.

Mayambala, nga Engineer agambye nti ennaku zino talina mulimu era obudde obusinga abumalira mu nnimiro.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *