Amawulire

Mao ayagala aba IPOD basindike bakalondoozi mu kulonda okujja

Mao ayagala aba IPOD basindike bakalondoozi mu kulonda okujja

Ivan Ssenabulya

December 22nd, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye

Ssenkaggale wa DP Norbert Mao asabye ssentebbe omugya owomukago omwegatira ebibiina ebirina abakiise mu palamenti ogwa Interparty Organization for Dialogue, nti mu bwangu balonde ekibinja kyabalondoozi bokulonda kwa 2021.

Bino webijidde nga ssentebbe womukago guno, Asuman Basalirwa owa JEEMA ngagenda kuwaayo obuyinza eri Yoweri Museveni owa NRM.

Omukolo guno gusuubirwa okubaawo akawungeezi ka leero, oluvanyuma lwekisanja kya JEEMA ekyemyezi 6 okugwako.

Kati Mao agamba ti ekisaanye okutekebwako essira kwekulaba nti okulonda kwa 2021 kubeera kwamirembe ate okwamazima.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *