Amawulire

Mao alambise Gavt empya byeba etandikirako okola

Mao alambise Gavt empya byeba etandikirako okola

Ivan Ssenabulya

May 18th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kiriko byekisonzeko eri gavumenti empya eya NRM ekulemberwa Yoweri Museveni eyakalayizibwa ku kisanja ekyomukaaga byeba ekola.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, Senkagale wékibiina kino Norbert Mao, ayagala gavumenti okudamu okwetegereza ssemateeka weggwanga, okutekawo enkola mwenekendereza ku magoba ku nsimbi enewole, n’emisolo nga bino byebiyinza okuyambako ebyenfuna byeggwanga okudamu omuzinzi.

Ono ayagala ne kitongole kya poliisi kiterezebwe ne bu barracks bwa poliisi bugibwewo kuba tebuli mu mbeera nnungi.

Mao agamba nti walina nokutondebwawo akakiiko aka National Truth and Reconciliation akagenda okunonyereza ku mivuyo egyetobese mu ntekateeka za gavt ezenkulakulana.