Amawulire

Male Mabirizi ayagala Ssabalamuzi ave mu musango gwa Bobi

Male Mabirizi ayagala Ssabalamuzi ave mu musango gwa Bobi

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti ensukulumu etaddewo olwanga 23 February 2021, okuwlira okusaba okwatereddwayo munnamateeka Hassan Male Mabirizi mwayagalira ssabalamuzi we gwanga Alfonse Owiny-Dollo ave mu musango gwa Robert Kyagulanyi oguwakanya okulondebwa kwa Yoweri Museveni, ku kisanja ekyomukaaga.

Ono omusango gwe yagututte mu kooti olunnaku lwe ggulo, ngalumiriza nti Alfonse Owiny- Dollo yandiberamu kyekubiira.

Agamba nti mu mwaka gwa 2006 yoomu ku bananmateka bebapangisa okuwolereza Museveni, era mu musango ogwaligukwanya okulondebwa kwa Museveni, ogwawaabwa Dr Kiiza Besigye.

Mabirizi agamba nti Owiny-Dollo, asaanye abeere wamazima yejje mu musango guno gusbole okuwlirwa abalamuzi abalala, mu bwenkanya kubanga yye tajja kukikola.

Mu biralala agamba nti nga 5 February 2021 ku mukolo ogwokuggulawo omwaka gwamateeka, Owiny-Dollo yasaba asisinkane Museveni okumunyonyola embalirirra yaabwe, kyamba nti kiraga nti enkolagana eyenjawulo wkati wababiri bano.

Agamba nti nekykoleddwa okugoba okusaba kwa Kyagulanyi, okukola ennongosereza mu mpaaba ye, kyoleka kyekubira gwalina.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *