Amawulire

Makerere teyakoze bubi nnyo mu alipoota ku bukaba

Makerere teyakoze bubi nnyo mu alipoota ku bukaba

Ivan Ssenabulya

March 14th, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ettendekero lye Makerere lyanukudde ku alipoota yakakiiko ka palamenti, akatekebwawo okunonyererza aku bikolwa abyobukaba amu masomero namatendekero aga waggulu.

Alipoota yalaze nti Makerere yekulembedde mu bikolwa ebyobukaba, omuli abasomesa okuganza abayizi, okukaka omukwano nebirala, nga babadde nemisango 7.

Wabula omumyuka wa ssenkulu e Makerere, Prof Barnaba Nawangwe agambye nti tebakoze bubi nnyo, okusinziira ku bungi bwabayizi nabakozi bebalina.

Agambye nti era batandise okutekesa mu nkola amateeka gonna, gebabaga agagendereddwamu okulwanyisa aomuze guno.

Ate abasomesa ku ttendekero bambalidde Prof Barnabas Nawangwe, okuwagira ekiteeso abasomesa abenyigira mu kwekalakaasa, tebabasasula.

Olunnaku lwe ggulo Nawangwe yasabye nti palament kino ekitunulemu, abakozi abateeka wansi ebikola, obutaweebwa musaal, nga bwekikola mu gwanga lya America.

Bwabadde ayogerako naffe, omumyuka wa ssentebbe owa MUASA Edward Mvavu agambye nti kuno, kunaaba kukoppa, bintu ate ebimu ebitakola wano.