Amawulire

Maama ow’abaana 7 eyakwatibwa ku bya kaafyu ayimbuddwa

Maama ow’abaana 7 eyakwatibwa ku bya kaafyu ayimbuddwa

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2020

No comments

Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu mu kampala eyimbudde maama owabaana 7 eyali yakwatibwa ku byokujemera ebiragiro byomukulembeze weggwanga ku kulwanyisa ekirwadde ki COVID-19.

Lillian Achiro nga mutuuze w’e Namuwongo yayimbuddwa ne banne abalala 19 beyakwatibwa nabo

Omulamuzi Wilson Kwesiga ategezeza nti omukyala ono ne banne okusindikibwa mu komera omulamuzi wa kkooti yokuluguudo Buganda erina ensobi gye yali yakolamu

Ono mungeri yemu ategeezeza nti omuwaabi wa gavumenti bweyayitibwa okuleeta obujjulizi teyalabikako

Kati bano ekibonerezo kyabwe ekyemyezi 3 mu nkomyo omulamuzi kwesiga akisazizaamu bwategezeza nti abantu bebakwata tebalina mwasirizi betaaga obwenkanya

Bano bali basindikibwa mu komera 3rd of April lwakutambulira mu ssaawa za kaafyu

Abaana Achiro 7 gye buvudeko balabikirako mu mawulire nga basaba buyambi bwa mmere oluvanyuma lwanyabwe okusibwa eyali abayigira ekyokulya