Amawulire

Maama awadde abaana obutwa n’eyetta

Maama awadde abaana obutwa n’eyetta

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Maama yesse oluvanyuma lwokuwa abaana be 3 obutwa.

Omugenzi ye Justine Namaganda, nga kigambibwa nti yakozesezza obutwa bwebumu bweyawadde ku baana be okwetta.

Bino bibadde ku kyalo Nalinya mu gombolola ye Budomero mu district ye Kaliro, ngomugenzi omulambo gwe gusangidwa munda mu nnyumba.

Wabula ekyewunyisa ate abaana tebafudde nga wetwogerera bali mu ddwaliro bafuna bujanjabi.

Mwanyina womugenzi Ronald Kirye agambye nti abaana babasanze bataawa era basobodde okubataasa, nga kati bali mu ddwaliro bafuna bujanjabi.

Wabula tekinategereka kiki ekimuviriddeko okukola kino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *