Amawulire

Lumumba yetondedde aba NRM

Ali Mivule

October 30th, 2015

No comments

Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine Lumumba yetondedde bannakibiina olw’emivuyo egyetobese mu kamyufu

Lumumba wabula tanyonyodde kiki ekiyinza okuba nga kyavuddeko obuzibu bwonna.

Akalulu kafumbekedde mivuyo gyabikozesebwa okutuuka ekikereezi, okugula abalonzi, nga n’awamu wofiisi zayokyeddwa

Akulira akakiiko akalondesa Dr Tanga Odoi gyebuvuddeko akavuyo konna yakassa ku Lumumba gw’agamba nti teyabawa lukalala lupya olwa ba memba

Lumumba kati yetonze n’asaba abawagizi okutuunulira okugenda mu maaso mu kifo ky’okwerumaluma

Lumumba era ategeezezza nga bwebataddewo banamateeka 47 okuyamba okuwoza emisango egitali gimu eginawaabwa ekibiina.

Bannamateeka bano emisango gyebagenda okukolako mwemuli n’egyekuusa ku kwemulugunya ku kamyufu akakaggwa.

Bbo nno abamu ku bakiise mu ttabamiruka wa NRM nakati bakyalemeddeko e Kololo nsonga ya nsimbi

Bano bagamba nti okutuuka ng’ekibiina kibawadde ez’okulya n’ensula bakusigala ku kisaawe.