Amawulire

Lukwago yenyamidde olwensimbi entono eziweebwa KCCA

Lukwago yenyamidde olwensimbi entono eziweebwa KCCA

Ivan Ssenabulya

March 5th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago,yenyamidde olwa gavumenti okukikola akagenderere okusalanga ensimbi zebasindikira buli mwaka okuddukanya emirimu kyagamba nti kikoseza nyo ezirukanya yémirimu gye nkulakulana

Bino abyogedde ayogerera mu lukiiko lwa bakansala ba KCCA olutudde okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira ye byensimbi eyomwaka 2021/22

Lukwago ategezeza nti mu mwaka gwe byensimbi ogujja bawereddwa obuwumbi 341.3 okuva ku buwumbi 547.39 ezabawebwa omwaka oguwedde.

Ono agamba nti bawereddwa amagezi okweyambisa ensimbi zino kuba eggwanga teririr bulungi lyagoyebwa nyo ekirwadde kya covid tewali nsimbi.

Wabula Lukwago yebuuziza oba nga ddala ekirwadde kya covid kirina kukosa ba KCCA bokka kuba embalirira ye ggwanga eyawamu yo ensimbi tezasaliddwa.

Lukwago atangaziza nti ensimbi ezibawereddwa tezirina kyezisobola kukola na ddala ku pulojekiti ezokulakulanya ekikbuga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *