Amawulire

Lukwago yawaaba mu bukyaamu- ssabawolereza

Ali Mivule

April 11th, 2014

No comments

 Lukwago case fixed

Ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi asabye nti okusaba kwa loodimeeya Erias Lukwago kugobwe kubanga yakukola mu bukyaamu.

Nyombi agamba nti okusaba kuno okuli mu kkooti y’okuntikko si kutangaavu era nga tekulina kakwate ku byava mu kkooti ejulirwaamu.

Ono agamba nti okusalawo okukoleddwa omulamuzi omu tekujulirwaako mu kkooti y’okuntikko ga Lukwago yandibadde awaaba mu kkooti ejulirwaamu yenyini , abalamuzi abalala nebawulira omusango gwe.

Nyombi akiikiriddwa Martin Mwambusha era agamba nti Lukwago tajulirangako okujjako okuwaayo ekiwandiiko ekiraga nti alina ekigendererwa ky’okujulira nga kino yakissa mu kkooti ejulirwaamu.

Wabula bannamateeka ba Lukwago abakulembeddwa Peter Walubiri bagamba nti tewaliiwo tteeka ligaana muntu kugenda mu kkooti y’okuntikko bw’aba tamatidde bivudde mu kkooti ejulirwaamu.

Bano bagamba omulamuzi Stephen Kavuma ebiragiro yayisa bingi nga n’ebisinga bikwata ku misango egyasalwaawo edda kale nga y’ensonga lwaki tebakkiririza mu byava mu kusalawo kwe

Abalamuzi abataano abakulirwa Esther Kisakye bawumudde okumala eddakiika 30 nga bakudda basalawo ku kusaba kwa Lukwago.