Amawulire

Lukwago ne Kasozi kwekuli anaasikira Ssebugwawo

Lukwago ne Kasozi kwekuli anaasikira Ssebugwawo

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye

Abavuganya gavumenti, mu kibiina kya FDC baliko abantu 2 bebasonzeeko kwebagenda okulonda anadda mu bigere byamyuka pulezidenti wekibiina, ekifo ekyalimu Owek. Joyce Nabbosa Ssebugwawo.

Kino kyadirira Owek. Ssebugwawo okuva mu kibiina ngawereddwa obwa minisita mu gavumenti ya NRM.

Kati abatunuliiddwa kuliko loodi meeya wa Kampala, Erias Lukwago neyali omubaka wa Makindye East, Ibrahim Kasoozi.

Kati amwulire ag’omunda galaga nti abakulu mu kibiina, ku bano kwebsibidde era kwebagenda okulonda anatuula mu kifo ekyo.

Wabula bwatukiriddwa pulezidenti wa FDC Patrick Amuriat talina noomu ku bano gweyayogeddeko, wabula yagambye nti entekateeka zigenda mu maaso okujuza ekifo ekyo.

Amuriat yagambye nti nga wiiki eno tenagwako, baakulangirira amyuka pulezidenti omugya, ngolukiiko olwa waggulu lugenda kutuula olwaleero okusalawo.