Amawulire

Lukwago awangudde ekisanja ekyókusatu

Lukwago awangudde ekisanja ekyókusatu

Ivan Ssenabulya

January 21st, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Rita Kemigisa,

Lord Mayor wa Kampala Eriasa Lukwago asuubiziza okuba engabo ya banaku mu kampala

Bino abyogedde amangu ddala nga yakalangirirwa ku buwanguzi ku kifo kyobwa loodi meeya bwa kampala mu kulonda okwabadeyo olunaku lweggulo.

Lukwago, yeyamye okuwereza bannakampala na ddala abo abanaku banyigirizibwa

Lukwago alangiriddwa ku buwanguzi, bwamezze banne abalala11 bwebadde mu lwokaano.

ono awangulidde ku bululu emitwalo 19 mu 4,592, owa NUP Nabilah Naggayi afunye obululu emitwalo 6 mu 82 songa abalonzi emitwalo 29 mu 5,592 bebalonze ku balonzi akakadde 1 nokusoba abali mu Kampala.

Owa NRM Dan Kazimbwe amanyiddwa nga Ragga Dee amalidde mu kifo kyakusatu n’obululu emitwalo 2 mu 3,388 songa Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleon yafunye obululu omutwalo 1 mu 2,212.

Lukwago yebaziza bannakampala olwokumulaga omukwago wakati mu muyaga gwa ambuleela ne bamuwa akalulu