Amawulire

Lukwago ategeezeza nti entebe yóbwa Loodi Meeya akyagala

Lukwago ategeezeza nti entebe yóbwa Loodi Meeya akyagala

Ivan Ssenabulya

September 16th, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago leero alangiridde mu butongole nga bwagenda okudamu okuvuganya ku kifo kino mu kalulu ka bonna akómwaka ogujja.

Bwabadde ayanjulira bannamawulire ekirubirirwa kye mu kamage e Wakaliga, agambye nti wakudamu okwesimbawo ku bwa loodi meeya nga akozesa tiketi yé kibiina ekya Forum for Change gyeyadda bweyava mu DP.

Lukwago anyonyodde nti ekimuwaliriza okudda, kwekuyamba bannakampala abatalina ayamba naddala mu kulwanirira eddembe lyabwe bwegutuuka ku nkulakulana yaabwe ne kibuga.

Ono agamba nti ekibuga kampala kikyetaagisa bingi okusobola okutukana nómutindo gwé bibuga ebyakula edda

Lukwago anokodeyo emyala egibooga buli nkuba lwetonya, obuli bwenguzi obufumbekedde mu kitongole ekidukanya ekibuga, obubbi bwe ttaka ne birala ngébirina okukolwako

Lukwago wakugwisa bwenyi ne munna kibiina kya National Unity Platform, Joseph Mayanja aka Jose Chameleon, owa Democratic Party Beatrice Kayanja, Kampala woman MP, Nabilah Nagayi Sempala, egenda okujja ku bwannamunigina ne munnaNRM Dan Kazibwe aka  Ragga Dee, abavaayo ne balaga obwagazi bwabwe mu ntebe eno.