Amawulire

Lukwago asabye bannakyewa obutapondoka

Lukwago asabye bannakyewa obutapondoka

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago, asabye ebibiina by’obwannakyewa mu ggwanga obutava ku mulamwa ogw’okulwanirira eddembe ly’obuntu

Kino kidiridde omukulembeze weggwanga YK Museveni okuyimiriza emirimu gye kibiina ki Democtratic Governance Facility (DGF) ekibadde kiwanirira ebibiina bino ne nsimbi ezokudukanya emirimu gyabyo.

Pulezidenti yategeeza nti aba DGF baali batataganya entekateeka za gavt n’okuwa ensimbi bannakyewa ze bawa abalyanyisa gavt

Lukwago agamba nti oluvanyuma lwe kibina kya DGF okuyimirizibwa bannakyewa tebalina kugwamu maanyi olwokutaba nansimbi wabula basigale nga bakola emirimu gyabwe yadde nga bagenda kuyita mu bugubi

Ono agamba nti ekigendererwa kya gavt kuteeka bannakyewa mu kafunda batandike okuzinira kuntoli zaayo