Amawulire

Lukwago alemedde ku nsonga

Lukwago alemedde ku nsonga

Ali Mivule

November 12th, 2015

No comments

File Photo: Lukwago nga yogeerako eri abantu

File Photo: Lukwago nga yogeerako eri abantu

Loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago agamba nti eby’akakiiko akalondesa okuyimiriza okuwandiisa abagaala obwa loodimeeya tebigenda kumulobera kugenda mu maaso na nteekateeka ze.

Lukwago agamba nti yadde yajjayo foomu ng’abamu kw’abo abagenda okwesimbawo, tannafuna kutegeezebwa  mu butongole ku bigenda mu maaso.

Lukwago agamba nti mwetegefu okugenda okuwandiisibwa ku bbalaza yesogge olwokaano lw’obwa meeya.

Ensonga eno agamba amaze okugitegeezaako ssabalamuzi w’eggwanga ne sipiika wa palamenti.

Olunaku lwajjo, akulira akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu agamba nti okutuuka ng’afunye ekiwandiiko ekitongole okuva eri minisita wa kampala ku bigenda mu maaso ssiwakutegeka kulonda loodimeeya.