Amawulire

Lukwago akyaleppuka n’emisango-gyongezeddwaayo

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Lukwago at Kabakanjagala

Okuwulira okwemulugunya kwe ku ky’okugobwa ku bwa loodi meeya Kooti enkulu ekwongeddeyo okutuusa nga 25 omwezi guno.

Kino kiddiridde banmamateeka ba Lukwago nga bakulembeddwamu  Medard Lubega Seggona okusabayo akadde okwongera okwetegereza okwewozaako kwa ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi, minister wa Kampala  Frank Tumwebaze, ssenkagale wa poliisi  Gen. Kale Kaihura n’akulira ekibuga  Jennifer Musisi ku nsonga eno.

Mu kwemulugunya kwe , Lukwago asaba kooti ekome ku bakungu ba gavumenti abamulemesezza okudda mu ofiisi ye nga ate kooti yayisa ekiwandiiko addemu okukulembera abantu be Kampala.

Omubaka wa Ndorwa ey’obuvanjuba Wilfred Niwagaba naye yegasse ku kibinja kyabanamateeka ba Lukwago.