Amawulire

Lt Gen Wilson Mbadi ye muddumizi wmagaye omugya

Lt Gen Wilson Mbadi ye muddumizi wmagaye omugya

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni, nga ye muddumizi wmagaye ge’gwanga owokuntikko alonze Lt Gen Wilson Mbadi ku kifoi kya Chief of Defense Forces.

Mbadi kati yazze mu bigere bya Gen David Muhoozi eyalondeddwa nga minisita omubeezi owensonga zomunda mu gwanga.

Kati Mbadi agenda kumyukibwa Peter Elwelu ku kifo kya CDF omumyuka w’omuddumizi wamagye ge’gwanga.

Mu nkyukakyuka zino era waliwo nabamagye abalala abakyusiddwa.

Lt Gen. Muhoozi Kainerugaba abadde omuwabuzi womukulembeze we’gwanga, bamukuzizza kati ye muddumizi wmagye ge’gwanga agokuttaka.

Gen Leopold Kyanda kati alondeddwa okukulembera amagye oba Chief of Staff ngagenda kudda mu bigere bya Lt Gen Joseph Masanyufu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *