Amawulire

Leediyo abantu gyebasinga okwesiga okufuna amawulire

Leediyo abantu gyebasinga okwesiga okufuna amawulire

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Ritah Kemigisa

Okunonyereza okwakoleddwa ekitongole kya Twaweza Uganda kulaze nti bannaYuganda 60% bakyakiriza mu Radio era gyebesiga okufuna amawulire.

Bwebabadde bafulumya alipoota ekwata ku ndowoooza zabantu ku mbeera yamwulire mu gwanga, akulira emirimu mu kitongole kino Marie Nanyanzi agambye nti ngojeeko radio, abantu era besiga nnyo TV ku 16%.

Abasunsuzi bamawulire mu kitongole mwebegattira, the Editors Guild of Uganda bebatongozza alaipoota eno.

Nanyanzi wabula agambye nti mu bantu bomubibuga, era abasomye bakiriza nnyo mu TV okusinga ku Radio.

Eri abakuze wakati wemyaka 18 ne 24 bakozesa nnyo emitimagano, okufuna amwulire.

Okunonyereza kuno kwakolebwa, nga batuuka ku bantu 1,500 okwetoloola egwanga mu Decemba womwaka oguwedde 2020.

Alipoota eno efulumye olwaleero, nga Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunnaku lweddembe lyabannamwulire, nga luvugidde ku mubala “Information as a public good.” oba amawulire kyetaago kya buli muntu.

Ate gavumenti ejjukiziddwa okussa ekitiibwa mu bweyamu bweyakola okulera eddembe lyabannamawulire, nokuwgira emirimu gyabwe mu gwanga.

Bino bijidde mu bubaka aba UGANDA NATIONAL CULTURAL CENTRE, bwebatadde mu kiwandiiko Uganda nga yegasse ku nsi yonna okukuza olunnaku lwabanamawulire.

Aba Cultural Centre basiimye emirimu egikolebwa bannamawulire, mu kukuuma nokutunda obuwangwa bwaffe, wabula bagambye nti kyandibadde era kikulu nnyo okukozesa olunnaku luno okujjukira abo abafirdde ku mulimu.

Bagambye nti era bannamawulire basaanye basimibwe kubanga bebakumira egwanga mu kumanya, mu kiseera kyomuggalo gwa senyiga omukambwe COVID-19 n’okubuliira abantu okwetangira obulwadde.

Bano beyamye okwongera okuwagira emirimu gyabanamawulire.

Olunnaku lwanga 3 May, lwatongfozebwa ekibiina kyamawanga amagatte mu 1993 oluvanyuma lwokusalwo okwali kukoleddwa aba UNESCO mu 1991.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *