Amawulire

Laddu esse omwana e Mityana

Laddu esse omwana e Mityana

Ivan Ssenabulya

February 18th, 2021

No comments

Laddu ekubye omwana n’afirawo, nomuntu omulala naddusibwa mu ddwaliro nga biwalattaka.

Omugenzi ye Moses Mwanje owemyaka 16 ngabadde mutabani wa Faridah Nansukusa ne Musaasizi Peter abatuuze b’e Kituntu mu district y’e Mpigi.

Ono abadde muyizi ku ssomero lya Kituntu UMEA mu kibiina ekyomusanvu nga laddu emukubye mu ttuntu, enkuba bw’abadde alembeka amazzi mu nkuba.

Mu mbeera yeemu, laddu ekubye omukazi mu ggombolola y’e Kituntu ku kyalo Nakibanga ngono addusiddwa mu ddwaliro ly’e Nkozi gyafunira obujajanbi.

Ono mukyala wa Ssentebe w’ekyalo nga laddu okumukuba, abadde aterekera bbaawe chai.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *