Amawulire

Kyambogo- Muddeeyo musomese

Ali Mivule

November 4th, 2013

No comments

Kyambogo

Abasomesa mu ttendekero lye Kyambogo balagiddwa okudda ku mirimu ku lw’okusatu luno awatali kwekwasa nsonga yonna.

Kino kituukiddwaako ba memba ku kakiiko akatwala ettendekero abatudde olunaku lwaleero

Bano era bakwasizza Prof Omolo Ndiege ebikola okuddayo ku mulimu gwe.

Akulira akakiiko kano, Prof John Okedi agambye nti abasomesa bano basaanye okwerabira ebye mabega batandike buto.

Bino bizze nga kati ennaku musanau ng’ettendekero lino liggale.