Amawulire

Kyagulanyi okuyitimusa ebyóbulimi mu ggwanga

Kyagulanyi okuyitimusa ebyóbulimi mu ggwanga

Ivan Ssenabulya

December 24th, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akwatidde ekibiina ki National Unity Platform bendera mu kuvuganya kuntebbe eyobwa pulezidenti, Robert Kyagulanyi aka Bobi wine, asuubiziza okudamu okuyitimusa ebyóbulimi , abalimi basobole okuganyulwa mu ntuyo zaabwe

Bino abyogedde ayogerako eri abawagizibe mu disitulikiti gyazaalwa e Maddu, Gomba.

Kyagulanyi agambye nti ye kitaawe yamuwerera munsimbi za mwaanyi wabula nga kati kyenyamiza okulaba nti abalimi be mwaanyi tebakyasobola kugyamu nsimbi kwebezaawo

Mungeri yemu asuubiziza abe Gomba okumalawo ekizibu kyámazzi nga basimira zi nayikondo mu buli muluka

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *