Amawulire

Kyagulanyi ayagala kumanya ku kufa kwa Ssabasumba

Kyagulanyi ayagala kumanya ku kufa kwa Ssabasumba

Ivan Ssenabulya

April 4th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Akulembera ekibiina ekivuganya gavumenti, National Unity Platform, nga ye mubaka wa Kyadondo East mu palamenti Roberyt Kyagulanyi akungubagidde, okufa kwa Ssabasumba we ssaza ekkulu erye Kampala.

Dr. Lwanga yafudde olunnaku lwe ggulo, oluvanyuma lw’okumusanga mu kisenge kye nga lwamazeemu amazzi.

Okufa kwe kwalangiriddwa Chancellor owessaza lye Kampala, Fr Pius Male Ssentumbwe.

Bwabadde ayogera eri abakristu, oluvanyuma lwekitambiro kya mmisa ku lutikko e Lubaga mu kusaba kwa Easter, Kyagulanyi omugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga amwongeddeko nga munnadiini abadde tasirika ku nsonga zobutali bwenkanya mu gwanga.

Kino agambye nti kyeraga lwatu, kubanga ne ssaawa ezitawera 24, nga tanafa yasoose kubanja nti bann-Uganda abazze bakwatibwa obwemage bayimbulwe.

Kyagulanyi akozesezza omukisa gwegumu, okubanja nti abantu banyomnyolwe, ku nfa yabanadiini abazze.

Ayogedde ku nfa ya eyali omusumba we Masaka John Baptist Kaggwa, Sheikh Noor Muzaata nabalala bagambye nti nokutuusa kati teri amanyi kituufu ku kufa kwabwe.

Mungeri yeemu, obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde okufa kwa Ssabasumba, Dr. Lwanga.

Kamalabyonna wa Buganda Charles Pater Mayiga asinzidde mu kitambiro kya mmisa kyekimu, okutuusa obubaka okuva mu bwakabaka kulwokufa kwa Ssabasumba, Mukma gweyajulude okuva mu bulamu bwensi olunnaku lwe ggulo.

Okusaba kuno kwetabiddwamu ebikonge ebyenjawulo, okuv mu bwakabaka bwa Buganda ne gavumenti eya wakati okubadde ne minisita owebyenjigiriza ebya waggulu Dr. John C. Muyingo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *