Amawulire

Kyagulanyi atutteyo omusango gwe mu kooti

Kyagulanyi atutteyo omusango gwe mu kooti

Ivan Ssenabulya

February 1st, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Akulembera ekibiina kya NUP era eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi Ssentamu atusiizza omusango gwe, ngawakanya okulondebwa kwa Yoweri Museveni owa NRM ku bukulembeze bwe gwanga.

Kyagulanyi awakanya ebyalangirirwa akakiiko kebyokulonda nti Museveni yawangulira ku 58.38% yye nafuna 35.08.

Mu bimu ku biwandiiko omuli empaaba yaabwe, Kyagulanyi awawabidde Yoweri Museveni, akakiikokebyokulonda ne ssabawolereza wa gavumenti olwokubba akalulu ke.

Kyagulanyi azze agamba nti okulonda kwalimu obubbi obutabangawo.

Banamateeka ba Kyagulanyi, empaaba bajikwasizza omuwandiisi wa kooti Harriet Ssali.

Kati guno gugenda kubeera musango gwa 4 nga guwakanya ebivudde mu kulonda kwomukulembeze bwe gwanga nobuwanguzi bwa Museveni.

Emisango egyasooka kuliko ogwa Kiiza Besigye ogwa 2001 nogwa 2006.

Omusango ogukyasembyeyo gwali gwa Amama Mbababazi ogwa 2016.

Mungeri yeemu Ssabalamuzi we gwanga Alifonse Owiny Dollo ategezezza banamwulire ku kooti ensukulumu okwewala omujjuzo.

 

Asabye banamwulire nti bewe amabanga agamala, oba nokugoberera omusango guno nga bakozesa tekinologiya wa Zoom.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *