Amawulire

Kyagulanyi asabye olukusa okulongoosa mu mpaaba

Kyagulanyi asabye olukusa okulongoosa mu mpaaba

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Robert Kyagulanyi Ssentamu akulembera ekibiina kya NUP, era eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga mu kulonda okuwedde asabye kooti ensukulumu, emukirize akole ennongosereza mu mpaaba ye.

Abalamuzi 9 aba kooti ensukulumu abakulembeddwamu Ssabalamuzi we gwanga Alfonso Owinny Dollo bebali mu mitambo gyomusango guno.

Oludda oluwaabi, nga lukulembeddwamu Medard Ssegona, bagambye nti bakyakunganya obujulizi, atenga waliwo waliwo obulala obwazuuse obwoleka emisango ddala abawawabirwa gyebamenya.

Wabula bannamteeka babawawabirwa bawakanyizza ekyokubawa enniongosereza nga bagamba nti omusango gwatuuka kikerezi.

Kati kooti yakulamula ku kusaba kuno, obanga banabakiriza bakole ennongosereza.

Kyagulanyi awakanya obuwanguzi bwa Yoweri Museveni, oluvanyuma lwokulonda kwa bonna okwaliwo nga 14 January, agamba okulonda kwalimu okubba akalulu er tekwali kwamazima na bwenkanya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *