Amawulire

Kyagulanyi asabye bamwongere obudde aleete obujulizi

Kyagulanyi asabye bamwongere obudde aleete obujulizi

Ivan Ssenabulya

February 18th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga, akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ataddeyo okusaba kwe okulalala, mu kooti ensukulumu, ngayagala bamwongere olunnaku lumu lwokka, abeeko obujulizi bwayongera okuleeta.

Kyagulanyi nga 1 February 2021 yaddukira mu kooti eno, okuwakanya okulondebwa kwa Yoweri Museveni, owa NRM.

Teyamatira nebyava mu kulonda, agamba nti okulonda tekwagoberera mataeeka, kwalimu okubba akalaulu, okukuba abantu nebikolwa ebirala.

Mu lutuula lwa kooti olwaliwo olwokuna lwa wiiki ewedde, ngekubirizibwa Ssabalamuzi we gwanga Alfonse Owiny-Dollo enjuuyi zobi baweebwa ssale ssale ne nnaku kwebatekeddwa okutekayo obujuizi nebiwandiiko ebyetagisa.

Kyagulanyi yaweebwa ssale ssale owanga 14 February 2021 okuba ngataddeyo obujulizi bwe, ate oludda lwa gavumenti ne Museveni nebaweebwa obutasukka nga 20 February 2021 okutekayo okwewozaaako kwabwe.

Wabula ku lunnaku lwasembayo ku Sunday, Kyagulanyi yatekayo obujulizi obulala 53 era ku lunnaku lwe Bbalaza nga 15 February 2021, okuyita mu banamateeeka be yddayo ku kooti nobujulizi obulala 127 naye kooti yabugoba.

Kati Kyagulanyi agamba nti tyamatira nekyakolebwa okugoba obujulizi bwe, era olunnaku lwe ggulo yataddeyo okusaba bamukirize aleete obujulizi obulala mu lunnaku lumu.

Olunnaku olwokuwulirirako okusaba kuno, lubadde terunalagibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *