Amawulire

Kyagulanyi alayidde okugeda gyebamugaanye

Kyagulanyi alayidde okugeda gyebamugaanye

Ivan Ssenabulya

December 29th, 2020

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Akutte bendera yekibiina kya NUP ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi amanyiddawa nga Bobi Wine alayidde nti waakugenda mu maaso ne kampeyini ze, mu bitundu okunoonya akalulu okwekungaana ezawamu gyekwaganiddwa.

Kuno kuliko ebibuga Kampala, Mbarara ne disitulikiti Wakiso Masaka, Mukono Tororo, Luwero nendala nga kyakoleddwa okutangira ssenyiga omukambwe COVID-19.

Bino abitegezezza bannamwulire ku kitebbe kyekibiina e Kamokya, nagamba nti ekiragiro kyakaiiko kebyokulonda kyarubirirdde kunyigiriza abavuganya gavumenti.

Bobi Wine nga yoomu ku babadde batanatuuka mu bitundu ebisinga ebyamenyeddwa era anenyezza abebyokwerinda olwokutandika okulubirira abantu abamuli ku lusegere okubatusaako obulabe.

Bino webijidde ngamakya ga leero waliwo omukuumi we omulala, ategerekseeko erya Ashraf atomeddwa mmotoka etategerekese, nemumenya okugulu.

Oluvudde kwebyo nayogera ku bulumbaganyi obususse okukolebwa ku bannamawulire.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *