Amawulire

Kyagulanyi alagiddwa okuteekayo okusaba okugyayo omusango gwe mu kkooti obutasuka lwakusatu

Kyagulanyi alagiddwa okuteekayo okusaba okugyayo omusango gwe mu kkooti obutasuka lwakusatu

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole ekiramuzi kiragidde senkagale wékibiina kya National Unity Platform leader, era nga yavuganya kubwa pulezidenti mu kulonda okuwedde, Robert Kyagulanyi aka Bobi wine okutekayo okusaba kwe okulaga nga bwagyeyo omusango gwe byókulonda mu kkooti obutasuka lunaku lwa kusatu ssabiiti eno.

Kino kidiridde Kyagulanyi okuyita mu lukungana lwabannamawulire lwatuziza olunaku olwaleero okutegeeza nga bweyalagidde bannamateekabe okugyayo omusango mu kkooti mwanbadde awakanyiza obuwanguzi bwa pulezidenti Yoweri Museveni mu kulonda okwakagwa.

Omwogezi we kitongole ekiramuzi Solomon Mwita agambye nti okusinzira ku mateeka Kyagulanyi alina okutwalayo okusaba kwe ku nsonga eno eri kkooti ensukulumu ne nsonga lwaki agyeyo omusango bazitunulemu balabe

Mwita agamba nti singa olunaku olwokusatu lutuuka nga tanateekayo kusabakwe kkooti yakugenda mu maaso nomusango gno