Amawulire

Kooti yaakulamula ogwa Kasango nga 26 March

Kooti yaakulamula ogwa Kasango nga 26 March

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu ewoza emisango gyamaka etaddewo olunnaku olwanga 26 March 2021 okulamula wa munnamateeka, Bob Kasango wanazikibwa.

Omulamuzi Lydia Mugambe yataddewo olunnaku luno, oluvanyua lwokuwuliriza omusango guno.

Omusango guno gwawaabwa kizibwe namwandu Nice Kasango Bitarabeho ayagala eyali kabiite we bamuziike mu disitulikiti ye Kabalore, maama w’omugenzi Rosie Kabise naboluganda abalala kyebawakanya.

Namwandu Nice Kasango, nga mujulizi asooka, yategeeza kooti nti omugenzi yabalamira ettaka e Fort portal webamuzikanga, kalenga obutakikola kunaaba kutyoboola omowypo gwomugenzi.

Ono agamba nti omugenzi weyafiira eya yali yegaana dda aboliuganda lwe okwali nnyina ngalumiriza nti balina olukwe okumutta.

Yye maama womugenzi Kasango, Kabise yategeeza nti Kasango yamauzaliira mu Busoga era kitaawe Musoga nga ye Livingston Richard Kasimo wabula nakulira mu maka ga Okello Bonneventure omusajja Japadhola.

Maama naye alumiriza nti Kasango yamuwereza ssente namulagira agule ettaka e Tororo nga gyeyalaama okumuziika.

Kasango yafiira mu kkomera e Luzira gyeyali ku kibonerezo ekyemyaka 16, olwokwekobaana nabaali abakungu mu minisitule yabakozi, okubba akasiimo akobuwumbi 15.

Kasango yafa ku Lwomukaaga nga 27 Febwali, 2021 wabula negyebuli kati omulambo gukukumibwa aba A Plus.