Amawulire

Kooti eragidde abamagye bajibwe ewa Kyagulanyi

Kooti eragidde abamagye bajibwe ewa Kyagulanyi

Ivan Ssenabulya

January 25th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu eragidde, abasirikale abaagumba mu maka ga Robert Kyagulanyi bagamuke mbagirawo nebitundu awo ebirinanyewo.

Kyagulanyi eyevuganuya ku bukulembeze bwe gwanga mu kalulu akawedde, eddembe lye libadde lyalinyirirrwa okusinziira ku kooti, era bubadde busibe.

Ono yasemba okuva mu maka ge e Magere ku lunnaku lwokulonda nga 14 January, okuva olwo abasirikale babadde tebamuganya kufuluma, okubadde nokukugira abgenyi be.

Mu nnmula omulamuzi Micheal Elubu gyawadde ku musango bananamateeka ba Kyagulanyi gwebawaaba, awabudde gavumenti nti bwebaba nga balinamu okutya nti Kyagulanyi ayinza okuba nga talina bukuumi obanga ayinza okuzza omusango, balina okugoberera amateeka.

Omulamuzi Elubu mungeri yeemu ayimbudde ne mukyala wa Kyagulanyi Barbra Itungo, addemu okwetaaya, era alagidde ssabawolererza wa gavumenti okusasaula ssente ezisisasanyiziddwa mu musango guno.

Bannamateeka ba Kyagulanyi abakulemberwamu Anthony Wameli, bebaddukira mu kooti okuwaaba omusango guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *