Amawulire

Kooti enkulu eragidde abe Lusanja baddeyo ku ttaka lyabwe

Kooti enkulu eragidde abe Lusanja baddeyo ku ttaka lyabwe

Ivan Ssenabulya

December 14th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Abatuuze be Lusanja mu district ye Wakiso kati bajaganya ebitagambika, nga kidiridde omulamuzi wa kooti enkulu  okusazaamu ensala ya kooti ye Nabweru ento eyali ebalagidde okwamuka ettaka lino

Guno omusango gubadde mu maaso gomulamuzi wa kooti enkulu Justice John Keitirima, nga ono agambye nti omulamuzi wa Nabweru  wa kooti nto, kale nga teyalina buyinza bukola ku musango ogusukka obukadde 50.

Ettaka erikayanirwa omugaga mederd Kiconco n’abatuuze libalirwamu abukadde nga  200.

Omulamuzi wa kooti enkulu era anenyezza omulamuzi wa kooti ye Nabweru okwokuwa ekiragiro ekigoba abatuuze nga tamaze na kutuuka ku taka elyogerwako

Kooti yeemu ekizude nga ebatuuze abaali bawawabiddwa tebaawebwa kibaluwa kya kooti ekibalabula , kyoka ete obubaka nebuwebwa ssentebe we kyalo kye Ssekanyonyi , ate bwegwatuuka mu kumenya nebamenya be Lusanja.

Kati wano kooti wesinzidde neragira nti abantu bano badeyo ku taka kyabwe, wabula omulamuzi n’abasaba nti bwebaba baagala okusasulwa bademu okuwaaba omusango omulala mu kooti.

Twogeddeko nabantu be lusanja nga bakawangula omusango gguno