Amawulire

Kooti ejulirwamu eri Fortportal okumala wiiki 2

Kooti ejulirwamu eri Fortportal okumala wiiki 2

Ivan Ssenabulya

June 10th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Omulamuzi wa kooti ejjulirwamu Frederick Egonda Ntende olwaleero aguddwo, olutuula lwa kooti eno olwenjawulo e Fort-Portal, ngeno emisango amakumi 40 gyegigenda okuwlirwa.

Ono agenda kukubiriza kooti eno, wamu nbalamuzi balala 2 okuli Hellen Obura ne Christopher Madrama.

Kati ku mukolo ogugulawo, wabaddewo okuwayaamu nabakozesa kooti mu kwagala okufuna obwenkanya era bangi nebatuusa okwemulugunya kwabwe ku buzibu bwebasanga.

Wabula abalamuzi beyamye okukola mu bwenkanya ate nokulwanyisa okwetuuma kwemisango.

Mu lutuula luno kooti egenda kuwlirza emisango egya nagomola okuli egy’obutemu, obwa kkondo, okuwamba abantu nemiralale gigwa mu kkowa eryo, okumala wiiki 2.

Wabula abalamuzi bakikatirizza nti eno teri bya kutabagana oba plea burgain, ng’enkola eno ekola mu kooti eza wansi wokka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *