Amawulire

Kooti egobye okusaba kwa bannamateeka ba Tumukunde

Kooti egobye okusaba kwa bannamateeka ba Tumukunde

Ivan Ssenabulya

May 20th, 2020

No comments

Bya Ruth Anderah, Bannamateeka ba Rtd Lt Gen Henry Tumukunde nga bakulembedwamu Geoffrey Turyamusiima basabye kkooti guno gweguba guba omulundi ogusembayo okwongezayo omusango gwe ogunmuvunanibwa ogwokulya munsi olukwe engeri gye kiri nti Tumukunde ateekateeka kuvuganya ku bwa pulezidenti mu kalulu ka 2021 nga kati ekyokulwisa omusango gwe kyandimutataganya

Wabula kkooti egaanye okuwuliriza okusaba kuno bwetegezeza nti obudde bukyali kkooti obutongezaayo musango guno kuba nembeera ye kirwadde eri mu ggwanga teganya ludda luwaabi kukola kunonyereza kwabwe bulungi

Omulamuzi Valerian Tuhimbise owa kkooti eya city hall mu Kampala okuwulira omusango gwa Tumukunde ogwokulya munsi ye olukwe nokusangibwa ne mmundu agwongezaayo okutuusa June 22nd 2020

Mungeri yemu, Tumukunde ategeezeza nga bwagenda okutegeeza eggwanga okutulugunyizibwa kwayisemu mu bbanga lyamaze nga ali munkomyo