Amawulire

Kooti egaanye ebyokuwandiisa bannamawulire

Kooti egaanye ebyokuwandiisa bannamawulire

Ivan Ssenabulya

January 19th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Kooti enkulu mu Kampala egobye ebisale ebibadde bisabibwa bananmwulire okwewnadiisa mu kitongole kivunayizbwa ku kulungamya emirimu gyamawulire mu gwanga ekya Media Council of Uganda.

Ekiragiro kino kyayita gyebuvuddeko, okusobola okuwa bannamawulire olukusa okusaka amawulire ku kulonda kwwomwaka guno, nemikolo gya gavumenti emirala.

Kati omulamuzi wa kooti enkulu Esta Nambayo ayisizza ekiragiro eri Media council nga kiraga nti entekateeka eno ebadde emenya amateeka.

Mu nnamula ye ejidde ku email omulamuzi Nambayo era agambye nti kikyamu, awatali ttendekero lya gwanga ettongole eribangula banamawulire nga bwekirambikiddwa mu tteeka lya press and journalism.

Kinajjukirwa nga 31 Decemba 2020, bannamwulire okuyita mu kibiina ekigatta abasunsuzi ekya Editors Guild Uganda nga bali wamu ne bannamateeka aba Centre for Public Interest Law baddukira mu kooti okusomooza gavumenti ku kiragiro kya Media Council nga bagamba nti tebalina buyinza.

Munnamateeka Francis Gimara, abadde awolereza bannamawulire, ayanirirzza ennamula eno.