Amawulire

Kkooti ezzeemu okugoba Lukwago mu ofiisi

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Lukwago in office fresh

Ebya loodi meeya Erias Lukwago bikyali bibi,nga tanabugumya na ntebe ye ey’obwaloodi meeya gyazzemu okutulamu olunaku olwaleero, nate  azzemu nagobwa mu ofiisi.

Kino kiddiridde kooti ejulirwamu okusazaamu byonna abyasaliddwawo omulamuzi wa kooti enkulu Lydia Mugambe eby’okuzza Lukwago mu ofiisi oluvanyuma lwa ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi ate okujulira.

Omulamuzi  Steven Kavuma alagidde Lukwago okwamuka ofiisi okutuusa nga okujulira kwa ssabawolereza wa gavumenti kumaze okuwulirwa.

Mu mpaaba ye, Sabawolereza Nyombi agamba ssimumativu nebyasalibwawo omulamuzi Lyidia Mugambe okuzza Lukwago mu ofiisi.

Okujulira kuno kubaddewo awatali munamateeka wa Lukwago.

Gyebuvuddeko amangu ddala nga yakadda mu ofiisi,Loodi meeya wa kampala Erias Lukwago aweze obutawolera ggwanga eri abo  bonna abamutwalaganya okwagala okumusuuza entebe y’obwa loodi meeya.

Lukwago mu ssanyu eryekitalo era yeebazizza banakampala bonna abayimiridde naye mu kawefube w’okudda mu ofiisi ye.