Amawulire

Kkooti ewozesa abalya eggaddwa lwa kirwadde kya Covid

Kkooti ewozesa abalya eggaddwa lwa kirwadde kya Covid

Ivan Ssenabulya

June 5th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ewozesa abalye eya Anti-Corruption Court eggaddwa okumala ssabiiti 2 oluvanyuma lwókuzuula abakozi batano nga balina ekirwadde kya covid-19.

Okusinzira ku mwogezi wessiga eddamuzi, Jamson Kalemani, ku balwadde kuliko omulamuzi, omuwandiisi wa kkooti, dereeva, offiisa, nakola mu layibulale.Kalemani agamba nti basazeeewo okuggala kkooti eno okwewala obulwadde okusasaana nókusobozesa abalina okufuyira ekifo kyonna okukikola obulungi.

Emisango ebibadde girina okuwulirwa gyakugenda mu maso okuyita ku mutimbagano.