Amawulire

KKooti etabukidde Katongole singh

KKooti etabukidde Katongole singh

Ali Mivule

November 5th, 2015

No comments

File Photo: Katongole Singh nga buuza ku bantu

File Photo: Katongole Singh nga buuza ku bantu

Kkooti enkulu eyisizza ekiragiro ekiyimiriza aba NRM okuwandiisa Katongole singh ng’akutte bendera ya NRM e Rubaga mu bukiikakkono

Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Festo Nsenga y’ayisizza ekiragiro oluvanyuma lwa gweyawangula  Brian Tindyebwa okumulumiriza okumubba mu kamyufu ate nga n’ebiwandiiko by’alina bikyaamu.

Tindyebwa nga munnamateeka agamba nti ebitabo bya Singh byakugatta bugassi kyokka ng’era tebiwera.

Katongole era alagiddwa okwewozaako mu nnaku 15 ng’omusango guno gwakuwulirwa nga 12 omwezi gwa December