Amawulire

Kkooti eragidde Ogwa Ham gudemu okuwulirwa

Kkooti eragidde Ogwa Ham gudemu okuwulirwa

Ivan Ssenabulya

May 5th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ejjulirwamu eragidde omusango gwómuggaga Hamis Kiggundu aka Ham ne Diamond Trust Bank Limited gudemu okuwulirwa.

Okusinzira ku balamuzi 3 nga bakulembedwamu amyuka ssabalamuzi Richard Buteera, Kenneth Kakuru ne Christopher Madrama, Ham alina okuliwa ensimbi zonna aba Dimond Trust Bank zebasasanyiza mu kkooti eno.

Bano basazeewo omusango okudamu okuwulirwa nga bagamba nti omulamuzi wa kkooti yé byeobusubuzi Henry Peter Adonyo ensalawo ye yagikola ngomuntu nga oluyi olulala teruweredwa mukisa kuwulirizibwa.

Kino kyadirira aba Diamond Trust Bank Uganda ne Kenya okudukira mu kkooti ejjulirwamu nga bawakanya okusalawo kwa kkooti eye byobusubuzi eyalagira bano okuddiza Ham obuwumbi bwensimbi obusoba mu 120 billion zebagya ku akawunti ye nga teyebuziddwako.

Kigambibwa nti mu mwaka gwa 2011-2016 Ham yewola obuwumbi bwensimbi obusoba mu 120 okuva mu DTB ne ggwanga lya Kenya okusobola okumaliriza ebizimbe bye wabula ensimbi teyazizaayo mu budde ne zikola amagoba agavaamu ebbanja lya buwumbi 39

Ababanka basalawo okwesasula nga batoola obuwumbi bwensimbi 120 ku akawunti za Ham 2 ekintu kyeyawakanya naddukira mu kkooti nga ayagala zimudizibwe.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *