Amawulire

Kkooti eragidde aba URA bekebejje emotoka ya Kyagulanyi

Kkooti eragidde aba URA bekebejje emotoka ya Kyagulanyi

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti egobye okusaba kwéyavuganya kubukulembeze bweggwanga Robert Kyagulanyi Ssentamu mweyali ayagalira kkooti eragire ekitongole ekiwooza ekya URA obutekebeja motokaye egambibwa okuba nti teyitamu masasi.

Kino kidiridde kkooti enkulu wansi womulamuzi Emmanuel Baguma okutegeeza nti ye takirabamu buzibu kyagulanyi okutwala motokaye eye kika kya Land Cruiser eri aba URA okugyetegereza ebigikwatako.

Kuntandikwa yomwezi oguwedde Kyagulanyi yadukira mu kkooti nga ayagala wabeewo ekiragiro ekikugira kamisona wa URA okubowa emotokaye nga agamba nti kiba kirinyirira eddembe lye eryokuba ne bintu mu kisiri

Wabula okusinzira ku kitongole kya URA kyategeeza nti emotoka ya kyagulanyi mu kugyekebejja mu kusooka bagitwala ngemotoka eya bulijjo songa yali yabyakulwanyisa ekitontana ne tteeka lya updf omuntu wa bulijjo okuba ne bintu bya magye.

Kati aba URA baweredwa olukusa okudamu okwebeja emotoka eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *