Amawulire

KKanisa ne poliisi betegedde paapa

KKanisa ne poliisi betegedde paapa

Ali Mivule

November 23rd, 2015

No comments

File Photo: Fred Enanga

File Photo: Fred Enanga

Kkanisa ya Uganda etegeezezza nti emalirizza buli kimu okwaniriza paapa atuuka mu ggwanga ku lw’okutaano luno.

Bino byogeddwa eyali ssabasumba ya Uganda Mpalanyi Nkoyoyo bw’abadde ayogerako eri bannamawulire .

Ono agambye nti bamalirizza buli kimu era nga paapa w’anaatuukira okubakyalira ku lw’omukaaga nga tewali kibanja.

Ategeezezza nti abakiristu bonna abagaala okulaba paapa bakumusisinkana kiyanja Namugongo ku ssaawa emu ey’okumakya

Yyo poliisi eriko abapoliisi omutwalo gumu mu enkumi bbiri abagenda okukuuma emirembe mu biseera paapa mw’anakyalira

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ebifo musanvu gyebagenda okussa ab’ebyokwerinda nga kwekuli ku kisaawe entebbe, ku luguudo lwa kampala, mu masekkati g’ekibuga, Munyonyo , Mbuya ne Namugongo.

Enanga agamba nti era waliwo abasirikale 800 abagenda okussibwaawo nga bbo ogwaabwe kulambika ntambula ya bidduka

E Namugongo sitiika zigenda kugabwa eri bokka abanakkirizibwa ku biggwa byonna.

Bbo ab’emotoka tebajja kusukka Kireka nga zonna zakusimba ku ssomero lya St Peters S.S, eziva e Kira zakusimba ku Greenhill S.S, ate eziva e Kireka zakusimba Namboole.

Abakulu abawerera ddala 130 beebasuubirwa mu ggwanga nga ku bano 20 ba kalidinaali ate 70 bannamawulire