Amawulire

Kkampuni y’amazzi ga Eco Fresh eggaddwa

Ali Mivule

July 16th, 2013

No comments

UNBS closes Eco fresh

Ab’ekitongole ekikola ku mutindo ekya UNBS kigadde kkampuni ekola amazzi g’okunywa eya Ecofresh.

Kkampuni eno esangibwa ku luguudo lwa Spring close Bugoloobi.

Amazzi gano kigambibwa okuba nga gabadde gakolerwa wajama era nga gassa obulamu bw’abantu mu matigga.

Akulembeddemu ekikwekweto ekiggala kkampuni eno, Martin Imalingat agamba nti ekisinze okuggaza kkampuni eno bya bulamu.

Kampuni eno bannanyiniyo ba China era nga yaggalwaako ne mu mwaka gwa 2011.